DDUNDA TUSASIRE

Ddunda tusasire, ffe abajja gy’oli n’ebitone.
Ddunda bikkirize, ebiva mu ffe ggwe nno b’olonze!

1.    Tuzze gy’oli kitaffe ggwe katonda
Ye ggwe atasingwa bukulu,
Siima twala ebitone bye tuleeta
Byonna siima ssebo,bikuwe ekitiibwa kyo.
2.    Tuzze gy’oli alamula buli kantu,
Byonna bisaanye bikutende
Teri mu ebyo ebitonde kikusinga,
Byonna ggwe obifuga, byonna bikugondera.

3.    Yiino eviini gye tuwa n’omugaati,
By’ebyo by’osiima mu bantú bo.
Kristu ye bye yeyamba n’atugamba
Mwenna nze mbatuma mukole nga kyenkoze.

4.    Tuzze gy’oli kitaffe ggwe atubumba,
Ffenna abaavu nno lunkupe
Tuzze twesiga, ssebo okuyambwa,
Byonna siima, ssebo otuwe bye twetaaga.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *