KATONDA WAFFE OYO

Katonda waffe oyo – Nnamwebaza ntya? (3)
Olw’ebirungi enfaafa by’atuwadde?
Nga tweyanze! Katumuddize kw’ebyo by’atuwadde
Ebivudde mu kutegana okwa buli nkya
(Ssebo ow’ekisa ebyaffe bisiime
Anti biraga omutima ogusiima) (2)
Ogw’abaana bo.

1.    Laba omugaati, laba n’eviini gye tuleese,
Laba n’amakula g’otuwadde tugaleeta.
Tobigaana, bitono nyo, biraga Kitaffe
Bwe tusiima Taata by’otuwadddewebalege.

2.    Tunaakuwa ki, ddala ky’osiima nannyini nsi?
Laba n’obulamu bw’otuwadde tubuleeta.
Tobigaana…………….

3.    Ebintu by’ensi, tubiwe Ddunda atwagala nnyo,
Tumuwe ebilala by’atuwaddeolw’ekisa kye.
Tobigaana……………..

4.    Nnaakuddiza ki, ddala eky’ebbeeyi ekikugyamu?
Kino kye nsobola kye nkuwadde onokitwala.
Tobigaana…………….

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password