KATUSITUKE TUTWALE

SOP; Ka tusituke tutwale bye tulina
ALL; Mu maaso ga Kitaffe Katonda byonna tumuddize
SOP; Ka tusitule ku byonna bye tulina
ALL; Omugabi eyatuwa byetulina tugende tumwebazze. Ffe bye tulina byonna bibye era
atoola ku bibye ye atulabirira.
Ffe n’atuwa ng’ayagala bituyambe tumuweereze.
Abanafu ffena abajeemu asaasira lunye era n’atusonyiwa,
N’atuleka ng’alinda tukimanye ffe tumuweereze.
Tulina kutoola ne tumuddiza Omukama atwagala.
Kye tuva tusitula ebirungi ne tumuwa bya kumwebaza.
1.    Ka tumwebaze Ddunda Omutonzi waffe
Bye wakola byonna Kitaffe bituyamba okutulabirira
Ggwe eyategeka otyo tusaana kukwebaza.
2.    Ka tumwebaze Ddunda okuturwanirira
Obunafu bwaffe obugonvu Mukama ggwe omanyi wabugera.
Ggwe awanirira ffe tusaana kukwebaza.
3.    Ka tumwebaze anti byonna bye tusaba
Enkumu byonna Kitaffe Ddunda obituwa tolemwa
Ggwe atuwa ebirungi tusaana kukwebaza.
4.    Tukuzinire era tukuyimbirenga
Emitima gyaffe tugizze Ddunda gikuwulirenga
Tukuweereze nga tusiima buyambi bwo.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *