KWE KUSIIMA KWANGE – Composed by James Ssewagudde

  1. Taata nzuuno ndeeta okusiima kwange (leero nange)

Nsiima taata ka ndeete ebirabo byange (biibyo)

Byandibadde bingi sso ebizze taata byeebyo (sso taata)

Tebisaana w’oli kankusabe omale gatwaala (biibyo)

Bye bivudde mu ntuuyo by’ompa mulimu ennusu ze nkoledde

Ka mbikuddize osaanira nyo kwe kusiima kwange (Nange)

Gwe Katonda wange omuganzi ssibisaanira byonkoledde,

Okukwebaza naakuwa ki gwe bitwaale byonna.

 

  1. Mba n’ebingi sso oluusi ne ssitoola (naye taata)

Ne nkwesamba nga gwe ompa ebirungi byonna (sso nga)

Nnandibadde wa nze ng’onkumye weebale nnyo(ng’onkuumye)

Ewuwo onjagadde ka nsituke nkutonere era (taata)

Ebisuubulwa bye nkuwadde n’ebimu ssebo bye ssireese

By’ebirabo byange ebitajja gwe bisiime kyokka (Nange)

Ekisonyiwo nkusaba ompe lwe ssikwebaza lwe ssireese

Mu butatona nswaala na nyo obutadda gy’oli.

 

  1. Ndeese eviini n’omugaati biibino era (byonna taata)

Byava gy’oli bye watonda taata byeebyo (biibyo)

Bizze n’oliyimba nange omuzinyi kwendi (olwekyo)

Biggyeyo ekitiibwa biggulire omutima gwange (anti)

Ogukwebaza eddembe ly’ompa n’okufa ssebo kwe mpiseemu

Ka nkuwe bino bye nfunyeewo tobigaana kyokka (Taata)

Gwe wabibaza n’obituusa n’obiwa enkuba byaabala nnyo,

Bye nnasimba bye bikutuuse Gwe Katonda wange.

 

  1. Nsiima taata mpa omwoyo ogutasinda (njige Taata)

By’ompadde ebyo nze nsiime obutanyiiga (Nange)

Njagala nkutuuke ng’omu ku baakusenga (nzije gy’oli)

Owuwo omulonde mbikkirira obulamu bwange (taata)

Ebibyo bino bye nkuwadde ntaddemu essaala z’ensi

Ka nfube nkole nkusaba ompe ku birungi byonna (N’abo)

Bamalayika ababireese mwana wo ssebo n’abituusa

Banzijuire okwanjulwanga ngabane ku byonna.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password