LEKA TUTONE

Leka tutone ku bingi ebyatugabira Ddunda
Tumuddize nnyini byo
Leeta, ekirabo kyo, twara ku mwaliiro
Tumuddize Omukama, Ddunda, anabisiima
1.    Ddunda twebaze byonna byatuwa,
Ngogabira abatonde – ffe abaana bo.
Ku bingi byotuwa naffe kwe tutonde tukutonere,
Biibyo Ssebo siima.

2.    Ddunda ngogaba, ggwe ngosaasira
Oyagara abatonde – ffe abaana bo
Ku bingi byotuwa, tojuza na muntu ffe bwe tusaba,
Taata owurira ggwe.

3.    Wa bantu bo, ffena ekyokurya
Ngowonya nabalwadde, ngosaasira
Tuyambe, toleka bantu bo tuwooba ggwe tuwulire,
Yamba, Ssebo yamba.

4.    Wa bantu bo, ffena amanyi go
Ffe abanafu ku bwaffe – ffe abantu bo
Kitaffe byotugamba ebyo tutuuse
Tukuwulire, ffe nga twesiga ggwe.
5.    Ggwe ngowa ababo, byonna byobawa
Ngogabira abatonde ebitonde byo
Byonna ggwe byobawa, bo olwo balyooke
Babyeyambise. Bo bakuwereza ggwe.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password