Ekidd.: Leka tutone ku bingi by’atugabira Ddunda
Tumuddize nnyini byo
Leeta ekirabo kyo, twala ku mwaliiro,
Tumuddize Omukama Ddunda, anaabisiima.
1. Ddunda twebaza byonna by’otuwa,
Ng’ogabira abatonde – ffe abaana bo,
Ku bingi by’otuwa naffe kwe tutodde tukutonere
Biibyo Ssebo siima.
2. Ddunda ng’ogaba, Ggwe ng’osaasira
Oyagala abatonde – ffe abaana bo,
Ggwe bingi by’otuwa, tojuza na muntu
Ffe bwe tusaba, Taata owulira Ggwe .
3. Wa abantu bo, ffenna ekyokulya,
Ng’owonya n’abalwadde, ng’osaasira,
Tuyambe, toleka bantu bo tuwoobe,
Ggwe tuwulire, yamba Ssebo yamba.
4. Wa abantu bo, ffenna amaanyi go
Ffe abanafu ku bwaffe – ffe abaddu bo,
Kitaffe by’otugamba ebyo tutuuse
Tukuwulire, ffe nga twesiga Ggwe.
5. Ggwe ng’owa ababo, byonna by’obawa,
Ng’ogabira abatonde – ebitone byo,
Byonna Ggwe by’obawa, bo olwo balyoke babyeyambise
Bo bakuweereze Ggwe.
DOWNLOAD LINK:
LEKA TUTONE