Mujje mwe tumuddize oyo Mukama (Katonda) Lugaba.
Mujje mwe tumuddize oyo Mukama (Katonda by’atuwa)
Taata biibino (ebirabo byo) Taata biibino (bye tukuwa) mujje tumwebaze.
Mujje tumwebaze (by’atukolera) tumwebaze,
Mujje tumwebaze (byonna) by’atukolera byonna.
- Y’alabirira ebyaffee bye tulina, n’adukirira n’ebyo byetulina.
Mujje tubimuddize Katona waffe
- Ye mugabuzi owaffe gwe tumanyi, n’agabirira bonna abatalina.
Mujje tumuwereze Katonda waffe.
- Ffe abamumanyi naffe tubekimu, b’agaburira ffe mubulikimu.
Mujje tumwebaze Katonda waffe.