MUSITUKE TUGENDE

Musituke tugende, tugende eri omukama,
Tumutonere ku byaffe (ebingi) ebivudde mu nsi eno,
Mwanguwe tugende (ddala tugende) atwanirize ddunda, nga tuli wamu ne Kristu, ayanjule ebyaffe.

1.    Omugaati n’eviini wabituwa
Bitujjukiza Kristu kye yakola
Kati  tubirese bikusanyuse ggwe
Ne tugattako emitima egimenyese.

3.    Tukwebaza nnyo mukama Ddunda
Otuwadde bingi ng’oggya mu kisa kyo
Ggwe totujuza kantu oli muzadde
Otulabirira nnyo Taata weebale.

4.    Ffe abakunyiza entakera tusobya
Otusaasire ggwe totugobaganya
Kati tuyambe tukole by’oyagala
Tubeere baana bo abalungi abaganzi.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *