NAMUGEREKA ATUWA EBIRUNGI

1.    Namugereka atuwa ebirungi
Ai Lugaba Namugereka
Namugereka tumwebaze ffe          “
Katumutwalire kku bino ebyaffe      “
Ku by’atugabira tumuddize ffe           “
Mugye tubutwale                 “
Tubitwale gy’ali                      “
Omukama abisiime              “
Ebivudde mu ffe                     “

2.    Namugereka agaba ebirungi              “
Namugereka tumuddize ffe           “
Ffe abamutonera tumwewe naffe     “
Alyoke asiime bye tutona ebyo           “
Namugereka omulungi bw’atyo          “
Buli k’olina mutonere ggwe           “
Namugereka omulungi bw’atyo     “
N’obulamu bwo bumuddize oyo     “
Mugye tubutwale                “
Tubitwale gy’ali                     “
Omukama abisiime               “
Ebivudde mu ffe                      “

3.    Twanguwekko                                    “
Nga tuli kimu ffena atusiime        “
Oyo gw’omanyi ng’era omukyaye       “
Kyakusaba omusonyiwe oyo            “
Alyoke asiime ekirabo ky’owa         “
Ekimusanyusa era ekiwooma           “
Mugye tubitwale                 “
Tubitwale gy’ali                      “
Omukama abisiime               “
Ebivudde mu ffe                   “
(x2)

i)    Weebale weebale ssebo Taata weebale
—Tweyanzizza
Weebale, weebale atuwa ebingi tumwebaze
—Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

ii)    Weebale weebale ssebo Taata weebale
—Tweyanzizza
Ffenna twogera kimu ssebo nti weebale
…Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

iii)    Weebale weebale ssebo obulamu bw’otuwa
—Tweyanzizza
Ffenna tuli mu ssanyu ssebo okukwebaza
—Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

iv)    Weebale weebale ssebo Taata weebale
—Tweyanzizza
Anti tuli mu ssanyu ssebo okukwebaza
—Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

v)    Weebale weebale ssebo Taata weebale
—Tweyanzizza
Naffe tusaana tuyimbe ssebo okukwebaza
—Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

vi)    Weebale weebale ssebo Taata weebale
—-Tweyanzizza
Ffenna twogera kimu ssebo nti weebale
—Tweyanzizza tweyanzizza tweyanzizza Lugaba
Weebale, tweyanzizza.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *