NNAMUGEREKA ATUWA EBIRUNGI (Fr. Expedito Magembe)

1. Nnamugereka atuwa ebirungi A! Lugaba Nnamugereka
Nnamugereka tumwebaze ffe – ,, ,,
Ka tumutwalire ku bino ebyaffe ,, ,,
Ku by’atugabira tumuddize ffe ,, ,,

Mujje tubitwale Tubitwale gy’ali Omukama abisiime Ebivudde mu ffe x2

2. Nnamugereka agaba ebirungi A! Lugaba Nnamugereka
Nnamugereka tumuddize ffe ,,,
Ffe abamutonera tumwewe naffe ,, ,,
Alyoke asiime bye tutona ebyo ,, ,,
Nnamugereka omulungi bw’atyo ,, ,, Buli k’olina mutonere ggwe ,,,
Nnamugereka omulungi bw’atyo ,, ,,
N’obulamu bwo bumuddize oyo ,, ,,

Mujje tubitwale Tubitwale gy’ali Omukama abisiime Ebivudde mu ffe x2

3. Twanguweko tugende gy’ali ,, Nga tuli kimu ffenna atusiime ,, ,,
Oyo gw’omanyi ng’era omukyaye ,, ,,
Ky’akusaba musonyiwe oyo ,, Alyoke asiime ekirabo ky’owa ,, ,,
Ekimusanyusa era ekiwooma ,, ,,

Mujje tubitwale ,, Tubitwale gy’ali Omukama abisiime ,,
Ebivudde mu ffe.x2

i. Weebale weebale Ssebo Lugaba weebale -Tweyanzizza
Weebale, weebale atuwa ebingi tumwebaze. -Tweyanzizza, tweyanzizza,
-Tweyanzizza Lugaba,
weebale,tweyanzizza.
ii. Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale.

iii. Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza.

iv. Weebale weebale Ssebo obulamu bw’otuwa
Anti tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza.

v. By’otugabira bingi weebale
Naffe tusaana tuyimbe Ssebo okukwebaza.

vi. Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale.

DOWNLOAD LINK:
NNAMUGEREKA ATTUWA EBIRUNGI

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *