NSENVUDDE NDEETA GY’OLI

Nsenvudde Taata nga ndeeta gy’oli,
Ntambudde  ngaleeta gaagano;
Amakula go Taata anti olwokukwebaza
Ssebintu by’onkolera nze omutondewo gw’obiita…a ggwe buli olukya *2
1.    Nsituse Taata owange gwentonera… nneyanzizza
Ggwe nziringana bitwale biibino…nneyanzege
2.    Tolabwa Ddunda owange gwentonera.
N’ombudaabuda ggwe taata ow’ekisa….

3.    Sirabanga mulungi owokunsi….
Nakufaanana kitaffe akwenkana……

4.    Sijula Taata w’oli nkaabye….
Nkwagala kufa kuba ojuna lunye….

5.    Ssisulanga njala ggwe w’obeera….
N’ondabirira ompa ggwe kye ndya..a…..

6.    Bibaze byo ebisimbe bye ndyako….
By’ogutaddeko guli mukisa gwo……

7.    Biweze byo ebirungi by’ompadde….
Njagala nkuwe nno kw’ebyo by’ompa..a

8.    Bulamu Ddunda owange bw’ompadde
Ne nkubiibiza amazina nkwebaze….

9.    Jjukira Ibrahim oli….
Jjajja w’ebika omutambizi oyo…..

10.    Jjukira omwana Yezu gw’ozaala…..
Lw’agifiirira luli ensi eno yo…..

11.    Yiino eviini Taata gyendeese….
Gye nkutonedde ebe omusaayi gwo….

12.    Gulabe ndeese gwo omugaati sso…
N’ogufuulamu okuba omubiri sso….

13.    Nze njagala Taata ontwale gy’obeera.
Lwendituukayo owange ndyesiima…..

Ah…………………….h
Eh…………………….h

Tukutonere ebirabo ebyaffe, tubiwe ggwe,
Tukutonere..e tubiwe gwe ebirabo tuleese gy’oli ggwe mukama waffe,
Mukama waffe, mukama waffe, katonda owaffe, mukuumi owaffe,
Nga twebaza ggwe taata, bwe tutenda, ebikuuno by’okoledde ensi eno tweyanzizza (clap)

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *