NZE NGENDA NTYA

Nze ngenda ntya eri omukama,
Ddala ddala ngenda ntya
nga sirina kye mmutonedde,
Kamutonere nze bye nnina
Ayi mukama bikkirize.
1.    Ayi mukama ndi mwanawo, kyokka ayi mukama nkujeemera,
Ne nkusaba kati onziriremu nze ayi mukama aboneredde.
Omugaati gwo gwe ndeese ng’era n’eviini ngitaddeko,
Bikutambirwe olwaleero mu Yezu Kristu omwanawo.

2.    Katukwebaze ggwe by’otuwa, ffenna abaganzibo abakumanyi,
Byonna ayi  mukama biva wuwo, era ayi mukama bidda wuwo.

3.    Ebyo ebibala bye tulina, ssaako ebisuubulwa bye tugula,
Byonna ayi mukama biva wuwo, kuba ayi mukama ggwe katonda.

4.    Watutonda n’otuteekawo, n’ebyo ayi mukama bye tulina,
Era ayi mukama tukimanyi, byonna ggwe by’ofuna obizzaawo.

5.    Katukwebaze bye tulina, byonn ayi mukama n’obulamu,
Bye tutalina tubisabye, byonna bitufuule ffe abaana bo.

6.    Ekirabo ekisembayo, ye ggwe ayi mukama abaana bo,
Emitima kagibe gigyo, ffenna nga twagala by’oteesa.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password