OGGYA KU BUGAGGA

Oggya ku bugagga bwo Mukama wange
gwe n’ongagawaza
Ebyo bye mpita ebyange byonna bibyo.
Njigiriza nange okutoola kwebyo by’ompadde mbikuddizenga;
Njigiriza nange okutoola kwebyo by’ompadde,
Ngagawaze abalala.
1.    Ebirabo byendeese biibino biva mukutegana kwange,
Omutima gwange ne byennina gy’oli biba bya ttendo.
Eby’ennaku n’eby’essanyu Taata mbikuddiza byonna,
Obunnafu bwange n’ebinnema by’ebirabo bye ndeese.

2.    Obulamu bw’ompadde Mukama bujjudde emikisa,
Kitange nneyanzizza ebirungi ontonnedde bingi.
Mukutuusa bye nteekwa okukola mbeere kitangala,
Mukusasira nenzigwerera mbayambe balabe ekubo lyo.

3.    Amaanyi n’amagezi bye wampa okuva mubuto bwange,
Okubyeyama nentetenkanya ebilala nga nfunye bingi.
Bwe bugagga kwe ntodde Mukama ne nkudiza nyinibyo
Obitwala gwe Namugereka by’ebirabo bye ntodde.
4.    Abayonta n’abawammu Mukama, abatalina kantu,
Bangi abaneetoledde Ddunda abaddagira gwe.
Kantoole ku byompadde ebingi mukutegana kwange,
Bafune emmere ya leero ettendo lyo bayimbe.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password