TOOLA TUDDIZE

Toola tuddize Omukama by’atuwadde
Omugabi omulungi ng’agabye nnyo,
Nnamuddiza ki oyo Katonda!
Ha…atamuddiza ani, akukuumye ng’oli mulamu Mukama waffe oyo…
Ha …atamuddiza ani byonna by’akoze ggwe y’akubedde
Yanjuluza, sumulula, ogabireko Omukama atasingika bugabi.

1.    Oli mulamu ku bwa Katonda, n’ebyo byolina bye bya Katonda
Kiki ky’olina ky’otafuna, Wenna oli wa Katonda!
Ebya Katonda biddize Katonda. Obe mutuufu mu nnamula yo.

2.    Ofunye ntoko ku bwa Katonda, toola by’ofunye ku bwa Katonda
Kiki ky’olina ky’otafuna, Wenna oli wa Katonda!
Ebya Katonda biddize Katonda. Obe mutuufu mu nnamula yo.

3.    Byonna by’olina ku bwa Katonda, byabala ddala ku bwa Katonda
Kiki ky’olina ky’oky’okungula, Nga Ddunda takukkiriza?
Ebya Katonda biddize Katonda. Obe mutuufu mu nnamula yo.
4.    Ogobolola ku bya Katonda, weyagalira mu bya Katonda.
Kiki ky’olina ky’otafuna, Ku nsi eno waleeta ki?
Ebya Katonda biddize Katonda. Obe mutuufu mu nnamula yo.

5.    Bw’otunuulira ebya Katonda, n’ebyo by’ofunye ewa Katonda
Kiki ky’okoze okumwebaza, Wenna oli wa Katonda!
Ebya Katonda biddize Katonda. Obe mutuufu mu nnamula yo.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *