TUKWANJULIRA AMUKULA GO

Tukwanjulira ebirabo byetuleese Ddunda:
Twagala tusiime Ddunda ffe by’otuwadde
Tweyanzizza tweyanzege ssebo okutukkiriza
Okukiika Taata mu maaso go olwaleero
Tunaakuwa ki? Ddunda, tunaakuwa ki?
Tunaakuwa ki? Ddunda ekikujjamu?
Tunaakuwa ki? Ddunda, tunaakuwa ki?
Tunaakuwa ki? Ddunda mugabi wa byonna.
1.    Tukuweereza ensi eno gye watuwa n’ebigirimu,
Tukuweereza eby’essanyu n’ebyennaku ebibaddemu.
Bisibuka mu mikono gyo Taata omusaasizi;
Byonna bikuwe ekitiibwa Ddunda Nnamtalemwa.
2.    Tukuweereza abazadde be watuwa olw’ekitiibwa kyo,
Tukuweereza eby’essanyu n’ebyennaku by’obalaze.
Bisibuka mu mikono gyo Taata omusaasizi;
Bonna ggwe bawe okunwera ku ggwe Nnamtalemwa.
3.    Tukuweereza abakozi buli lukya abakuweereza,
Tukuweereza eby’essanyu n’ebyennaku ebibaddewo.
Ggwe olabirira bye bakoze Taata n’obagumya;
Byonna bakuwe ekitiibwa mw’ebyo bye bakoze.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password