OLI MUSASERDOOTI DDALA by Godfrey Lubuulwa
Oli musaserdooti ddala ddala
Omusiige w’ol mukama gwalonze
Emirembe n’emirembe
Oili kabona gw’alonze
- Ye ggwe agatta Katonda n’abantu
Ggwe Kristu alabika, oli kabona,
Awereza ebitambiro, n’ebitone ebimusanyusa
- Wagatiibwa ne Kristu omusaserdooti,
N’osiigibwa Crisma, n’akujjula,
Mwoyo wa Katonda n’akutukuza,
Obe mulanzi musaserdooti ddala ddala
- Ggenda olangirire, ggenda olangirire evangiri
Obuulire abatonde evangiri eyeddembe
Obasomese balakoke, bamanyise eddini,
N’ekelezia, n’e Kristu atutwala
0 Comments