ABAJULIZI BA UGANDA

1.    Leero tujaguze ffenna
Olw’essanyu olw’ekitiibwa!
Nga tulowooza bannaffe
Abazira nga bwe beesiiimye
Ba Uganda abajulizi
Basaale baffe mu ddiini.
Abajulizi ba Uganda
Beesiimye nnyo mu kitiibwa
Batikkiddwa engule za ba Luwangula
Batukulembedde ffenna,
Ka tubagobererenga;
Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria,
Naffe nno tuwere nti Yezu! Maria.
2.    Mukulike mmwe abaira,
Mmwe abagoba entalo ez’amaanyi
Nga musoma olw’empaka
N’okukwata empisa z’eddini.
Mwanywerera ddala mmwenna
Ku katonda gwe mwasenga.

3.    Mwalinga mukayali baana
Mu lubiri nga mmwe baganzi
Era nga mukyawoomerwa
Obulamu n’okulya obwami
Ebyo byonna mwabigaya
Ne musiima okutiibwa.

4.    Mu kkomera mu ttambiro
Mu bulumi obutagambwa!
Obuzira bwa kitalo!
Nga timuta kwegayirira,
Ne musabira Uganda
Yonna esenge katonda.

5.    Tufunye mu ggulu leero,
Abatuwolereza bangi,
Be tunaalabirangako
Tulyoke tusinge sitaani
Okutuusa lwe tulifa,
Ne tugenda ewa katonda.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *