MMWE AB’EKITIIBWA

Mmwe ab’ekitiibwa,
Mubugaanye essanyu mwesiimye,
Tubawanjagidde,
Mutuyambe mu kwerokola.
1.    Ayi mukama! Abajulizi,
Be tutenda mu nnyimba zaffe
Baakukiza obulamu bwabwe
Baalabira ku mununuzi!

2.    Ggwe wabawa okuwangula
Abambowa abakanga ddala
N’obazibira nga balwana
Olutalo oluvannyuma

3.    Abazira abatufiirira
Tubatenda okukkiriza
Tubatenda n’okusuubira
Era tubatenda okwagala.
4.    Yezu Kristu, kabaka waabwe,
Ku kufa kwe baalabira,
Ne baguma mu nnaku zaabwe,
Nga basabira n’abambowa.

5.    Baasalirwa ogw’okuttibwa
Ku lw’eddiini gye baakwatanga;
Baafumitwa ne bakubibwa
Mu muliro ne babengeya

6.    Abazira, mwakalanguka
Nga timutya, nga timwekanga
Ne mulaga abantu bonna
Yezu wammwe bwe mumwagala.

7.    Baganda baffe Abajulizi
Tunyiikire okubeyuna
Be baganzi b’Omulokozi
Tubasabenga okutujuna.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *