MUKULIKE NNYO MWASOMA

Mukulike nnyo mwasoma mmwe abeewayo sso okuttibwa,
Muli ne Yezu mwesiimye, mu kwesiima kwonna,
Mutikkiddwa mwenna engule, za baluwangula*2
1.    Mukulike okusoma, eddiini mwaginyweza,
Mwagisoma n’ekiro temwebaka tulo,
Mwasoma nnyo eddiini, mwagimanya bw’eri,
Ddunda tumwebaza, yabajjuza amaanyi.

2.    Mukulike abazira, mmwe abaagoba olutalo,
Mwanywerera ku Yezu gwe mwasenga mwenna,
Mwewaayo nnyo kw’olwo, olw’okuba eddiini
Temwatya kuttibwa, tubeewuunya naffe.

3.    Mwalina okukkiriza, okunywevu ng’ejjinja,
Mwanywerera ku ddiini, gye mwasoma mwenna,
Zaabanyiga ennaku, ne muguma nammwe
Temwatya kuttibwa, nga mujjudde essanyu.

4.    Mujjukire banaffe, baganda bammwe bonna,
Abakyali ku nsi eno ekyamya bangi leero
Nga musabye Ddunda, alituwa enneema.
Ey’okuba ffenna, mu kwesima nammwe.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *