Lyrics

Chorus

Abaagalwa mwenna mujje mwe abantu;
Tugende ew'Omukama tumusinze wamma.
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe.
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n'eddembe
Bituviira mu Mukama, byonna era n'obulamu.

1

Omukama ye wakutendanga.
Yee, ettendo n'ekitiibwa tubiwenga Katonda.
Ate ani, ani amwenkana?
Anti mu liinya lye byonna bifukamira.

2

Wa maanyi ye wakutiibwanga.
Yee, amaanyi g'alina oyo ga njawulo wamma
Yekka omu byonna eby'eggulu n'ebyo eby'ensi
Byonna ye abiwanirira.

3

Tumwebaze Ddunda yatwewa.
Yee, oyo olw'ekisa kye yatuganza abantu,
Ffe luli edda ffena bwe twawaba
Ye nno mu mwana we ffena ye yatiggyayo.

4

Mu Kristu ye mwe yeweweera
Yee, ffe Kristo Olw'okufa kwe ne tufuuka baganzi
Ebyedda byonna olwo byakoma,
Anti mu mwana we leero ffe mikwano gye!

5

Amiina ye wakutendwanga
Yee, yekka ow'ekitiibwa, tumutende Katonda.
Ffena ffe abaana ab'engoma,
Taata atwagala ffena alituwanguza.

Chorus

Ent: LEERO TUNAAKUTENDA
Leero tunaakutenda Yee Ddunda
Katonda , Oli wa kitiibwa, tunaakutenda
Ye Ggwe Katonda mwene Yee Ddunda
Katonda, Oli wa kitiibwa tunaakutenda

Chorus

Tukwagala nnyo Mukama waffe Yee Ddunda
Katonda, Oli wa kitiibwa, tunaakutenda
Tukwesiga nnyo Mukama waffe Yee Ddunda
Katonda, Oli wa kitiibwa, tunaakutenda

Chorus

Chorus
Tunaalitenda Erinnya lyo
Buli olukedde Erinnya lyo
Mukama ow'obuyinza byonna abisinga
Olw'ekitiibwa kyo Ddunda, buli lunaku (tunaakutenda) x2

Chorus

Amawanga gonna ganaakutenda Katonda
Abazadde bonna banaakuyimba Katonda

Chorus

Tukwekola nnyo Mukama waffe Kagingo
Tukwesiga nnyo Mukama waffe Kagingo

Chorus

Chorus

Chorus

Mujje ffe b'anunudde Katonda
Mujje abalondemu be.. Katonda

Chorus

Tukwagala nnyo atatusuula Katonda
Tukwagala nnyo atatudaaza Katonda

Chorus

Chorus

Chorus

Ebitonde byonna binaakutenda Mutonzi
Buli ludda lwonna lunaakutenda Mutonzi

Chorus

Birya butaala ne byegazaanya Mutonzi
Bikwekola nnyo Ggwe atabisuula Mutonzi

Chorus

Chorus

Chorus

Ggwe Kitaffe yonna tunaakutenda
Kagingo
Tumutende ffena Katonda Mwana
Osaana

Chorus

Tukwagala nnyo Mwoyo atuyamba
Osaana
Tukwesiga nnyo Nnabasatwe Ggwe
Katonda

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.