Lyrics
Bwali kiro mu ttumbi,
abasumba bali ku ttale nga balunda.
Giriyaga, giriyanga, giriyanga, giriyanga nga balunda,
nga balunda, nga balunda, nga balunda.
Mu ttumbi, mu ttumbi, mu ttumbi nga balunda, nga balunda,
nga balunda, ndiga zabwe,
nga balunda endiga zabwe mu ttumbi.
Gye bakuba amaaso (nga malayika atuuse),
[lo?] gye bakuba amaaso
nga Malayika atuuse,
atangaala Malayika wuuno,
atangaala mulungi wa njawulo, oh!
Ajjidde mu kitiibwa, ajjidde mu kitiibwa,
atangaala nnyo, atangaala nnyo,
n'agamba nti:
Bannange temutya mwe,
bannange mutiira ki?
Kambabuulire, kambabuulire eky'ettendo,
eky'ettendo ekya ttendo ddala, ddala,
ddala, ddala, ddala,
abantu musanyuke,
mwenna mujaguze (lwaki nno?)
ku lunaku lwa leero
Mulokozi azaaliddwa (tonnimba, tonnimba!)
Mu kibuga kya Daudi azaaliddwa.
(Ali luuyi wa? Ali ngeri ki?)
Munasanga Omwana azazikiddwa,
(Katonda w'ensi mmulinda)
munasanga Omwana mu mmanvu,
Ye Mulokozi, Ye Mulokozi.
Amangu ago, amangu ago,
amangu ago gye bakuba amaaso nga kyetinze!
Amangu ago, nga kyetinze amangu ago,
kyetinze, kyetinze, kyetinze ddala, ddala nnyo,
amangu ago kyetinze,
eggye, eggye, eggye livudde mu ggulu,
Bamalayika bonna bayimba n'essanyu;
nga Bamalayika bagulumiza Omukama,
bonna nga bagamba:
Kitiibwa mu ggulu eri Katonda,
n'emirembe ku nsi eno,
ku bantu Katonda b'alyoye,
beesiimye nnyini abalongoofu, yee,
atuuse ndaba gwe balinda,
ku bantu Katonda b'alyoye.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.