Azuukidde Omuwanguzi

Composer:

Lyrics

Azuukidde, azuukidde, azuukidde, azuukidde Kristu azuukidde,
twamulabyeko akaga,
omuwanguzi sso Kristu azuukidde;
azze n'ekitiibwa, azze n'obuyinza Kristu omuwanguzi agguse.
Twesiimye omuwanguzi agguse.
Luno, luno Kristu azuukidde.

Ssabalangira y'oyo, Ssabalangira y'oyo, Ssabalangira y'atuuse.
Awangudde sitaani n'olumbe.
Ssabalangira ye wuuyo omuwanguzi ntalo.
Tumukubire emizira, tumuyimbe ku ndongo,
engoma zitujje nnyo, engalabi eseke,
tumukulise omuzira.
Omulokozi atalemwa.

Alleluya, alleluya Omulangira agguse,
alleluya, alleluya Ssabalangira agguse.

Muyinza wa byonna.
Munoonya ki? Munoonya ki? Munoonya ki?
Omulamu mumunoonyeza ki mu bafu?
Muno taliimu azuukidde. Muno taliimu.
Mujjukire, mujjukire kye yabagamba ng'ali'e Galilaya
mu kyalo ka Daudi nti: "Omwana w'omuntu ateekeddwa
okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi
bamutte ng'akomererwa ku musaalaba.
Naye ateekwa, naye ateekwa okuzuukira ku lunaku lwokusatu."
Azuukidde muno taliimu. Azuukidde muno taliimu.

Sabbato olwaggwa, ku lunaku olwaddirira,
Sabbato olwaggwa ku lunaku oluddirira mu matulutulu,
Mariya oli omulala ne Mariya Magdalena,
ne bajja, ne bajja, balabe ebifudde ku ntaana.
Ne wasibuka musisi ne wasituka musisi,
ne wasituka musisi ow'amaanyi ddala, ddala,
kuba Malayika w'Omukama, yawanuka eyo mu ggulu ddala n'abuuka,
n'ajja ayiringisa ejjinja ku mulyago gw'entaana n'alituulako.
Mulabe atukula, mulabe atukula afaanana kimyanso
ekyambalo kye kitukula ng'omuzira.
Abakuumi ne bakankana, ne batekemuka okukamala,
ne bafaanana ng'abafudde! Gabawedde.
Malayika n'agumya abakyala:
Mmwe muleke kutya. Mmwe muleke kutya.
Nze nkimanyi munoonya Yezu.
Nze nkimanyi munoonya Yezu eyakomererwa.
Mulabe muno taliimu. Mulabe muno taliimu.
Azuukidde, azuukidde nga bwe yagamba.
Mujje mulabe ekifo mwabadde agalamidde.
Mugende, mugende mubabuulire.
Mugende, mugende mubabuulire mmwe abayigirizwa bange
nti nzuukidde, nti nzuukidde, ngenda Galilaya,
bajje eyo balindaba. Bajje eyo balindaba.
Bakazi badduka embiro, bakazi, badduka embiro,
bakazi, badduka embiro ne bafuluma mu ntaana,
eruuyi nga batya, ate eruuyi ng'essanyu libajudde
okuwulira nti mulamu;
ne baddukanako, ne baddukanako okubuulira Abatume
nti: "Azuukidde."
Ne basisinkana Yezu ng'essanyu libatta;
n'abalamusa ng'agamba: "Mutyanno."
N'abalamusa ng'agamba: "Mutyanno."
Ne basembera, ne bakwata ku bigere bye ne bamusinza.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.