Lyrics
Bajjajjaffe bano mu kukkiriza,
Be bazira ennyo ab’oluganda,
Kye tubasaba baganda baffe ab’ekitiibwa,
Tweyongere mu kukkiriza, eddiini tuginyweze.
Okukkiriza kwe kwabayamba,
Okugoba entalo ez’amaanyi,
Ne musoma eddiini n’ebayingira,
Yezu owammwe n’abasingira.
Okukkiriza kwe kwabayamba,
Okusoma nnyini obutakoowa,
Ne muleka ebingi ebyali biwabya
Tusaba tuleme okuterebuka.
Okukkiriza kwe kwabayamba
Ne babavuma olw’eddiini
Kye tusaba naffe ebituyigganya
Timuta mmwe nga mutuyambako.
Mutudde wamu nga muli n’oyo
Mu ggulu ssebo mumutenda,
Katonda owammwe oyo ow’olubeerera
Naffe tufuba tulituukayo.
426. B’ASIIMA B’AGEZA (Fr. James Kabuye)
Aboluganda, aboluganda, aboluganda,
Bwe mufuna ebizibu ebitali bimu, mugambanga nti:
Twesiimye nnyo twagalwa nnyo, Mukama atusiimye
Anti b’asiima anti b’asiima b’ageza.
Tumanyi kimu nti ekizibu ky’okukkiriza, kibaviiramu
kugumiikiriza.
Olwo ne mufuuka abantu abakuze, abajjuvu abatalina
kibabula,
Kibabula, abajjuvu, zaabu atukuziddwa mu kabiga
amasamasa.
Musajja agumira ebizibu yeesiimye, yeesiimye,
Bw’alimala okugezebwa, alifuna engule y’obulamu, y’obulamu
engule y’obulamu.
Omwavu agumira ebizibu yeesiimye, yeesiimye,
Bw’alimala okugezebwa, alifuna engule y’obulamu, y’obulamu
engule y’obulamu.
Omulwadde agumira endwadde ye yeesiimye, yeesiimye,
Bw’alimala okugezebwa, alifuna engule y’obulamu, y’obulamu
engule y’obulamu.
Saba ky’osaba tobuusabuusa ojja kufuna, Ddunda wa kisa nnyo
Buli alina okukkiriza y’awangula ensi. Beera mugumu n’ennaku zo,
Ennaku y’ensi tewoneka, ne Kristu yagiyitamu, nywerera ku ye ojja
kuwangula.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.