Lyrics
Ekikulejje, ekikulejje,
ekikulejje kyalabika wagulu ewala,
ebitonde byekanga,
Bamalayika nabo nebekanga,
ekikulejje kyalabika waggule ewala,
ensi newunikirira.
Ensi nesagambya.
Mu ggulu ne kyetinda,
Bamalayika enkumu nga beetoolodde namulondo ne basaakaanya:
Atutunuka ng'emmambya y'ani oyo?
Amasamasa nga zaabu y'ani oyo?
Omubalagavu ng'omwezi y'ani oyo?
Omukazi ayambadde ng'enjuba,
atikiddwa n'engule ey'emunyeenye ezitemagana
y'ani? Y'ani? Y'ani oyo?
Ye Namasole w'ensi n'eggulu, mutiibwam muzadde.
Ye yazaala Omwana wa Katonda.
Nkulamusa nnyo,
Ggwe omuzadde wa Yezu,
kulika ggwe okwevaamu
n'ozaala omwana wa Katonda.
Mulokozi wange alleluia, alleluia,
leero tulokoddwa,
tufunye obuyinza Katonda waffe,
kati y'afuga Kristu omusiige we nnyini buyinza,
kati omulabe we akasukiddwa.
Nnyaffe weebale kuzaala, tuli baana bo.
Nnyaffe weebale kuzaala, tweyuna wuwo.
Nnyaffe weebale kuzaala, tuli ba lulyo.
Nnyaffe weebale kuzaala, tuli ba kika.
Nnyaffe weebale kuzaala, tuli basika.
Nnyaffe weebale kuzaala, tulituukayo.
Nnyaffe weebale kuzaala.
Tukulamusa ggwe nnyaffe akira abatonde,
Maria omuzadde,
laba ffe abaana bo tuzze nga tuwanjaga,
ggwe ow'ekisa tuyambe,
tuli baana bo nnyaffe tuwonye sitaani
awuluguma nga ngo,
nnyabo tuyambe tumuwangule nnyaffe totuleka.
(tuwonye sitaani.)
Nnyaffe totuleka,
tuyambe mu kaseera akazibu, akazibu,
tolinda, tolinda yanguwa.
Ensi yo ezikirira,
endwadde etumalawo.
Eddiini etuweddemu,
Ggwe bazze ku Mwana wo.
Ensi eno etabanguka,
zzawo ggwe emirembe.
Ggwe nnyaffe tuli baana bo b'oganza, tukwewa,
tuli baana bo b'obiita baganzi;
ffe tusabire tujje eyo ewaladde,
ewaladda, ewaladde
mu kitiibwa gy'oli mu ggulu.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.