Ekitiibwa Kibere Eri

Lyrics

Chorus

Katonda

Chorus

Bass; Ekitiibwa kibe mu ggulu eri
Katonda

Chorus

Ekitiibwa kibeere eri
Katonda, yekka;
Naabo abalungi ye basiimye,
emirembe gibeere kubo.

1

Tukusinza, tukutenda anti ebyo
byokola Mukama bya ttendo.

2

Katonda Mukama ggwe omuyinza
Patri ggwe Kabaka w’eggulu otendwa.

3

Omutiibwa wekka Omwana owa
Kitaffe ggwe katugulumize,

4

Ayi Mukama, Kaliga ka Katonda
Yezu Kristu Mukama otendwa.

5

Ggwe ajjawo ebibi by’ensi saasira
saasira, tuwanjaze tuwulire.

6

Ggw’atudde ku ddyo gwa Kitaffe,
saasira saasira tuwanjaze tuwulire.

7

Kubanga ggwe Mutukirivu
asukkiridde wekka, ggwe Yezu Kristu.

8

Wamu ne Mwoyo Mutukirivu, mu
kitiibwa kya Patri, Amiina, Amiina.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections