Lyrics
Katonda wa buyinza, y'asindika Mapeera;
ajje eno mu Uganda, asomese eddiini.
Twali mu kulagulwa, kuwongera sitaani;
kati ebyo twabisuula, tusinza Katonda.
Y'aleeta ekitangaala, ne kyakira Uganda;
ne tumanya Katonda, n'ebiragiro bye.
Basaserdooti bangi, wamu ne banaddiini;
abeewayo bulamba, basomese eddiini.
Sitaani twamukyawa, ayita eyo buzizi;
alimberimbe bw'atyo, tuve ku Katonda.
Eddiini tuginyweze eya baganda baffe;
abaayiwa omusaayi, okubeera Yezu.
Tubuuke twegiriise, mu maaso ga Kitaffe;
akuumye eddiini yaffe, emyaka ekikumi.
Tusuubira bulijjo, empeera ey'eggulu;
gye tulyesiimira eyo, emirembe gyonna.
Asaana kwebaza, asaana kwebaza.
Asaana na kutenda wonna mu Uganda.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.