Lyrics
Olubereberye, Kigambo y'aliwo.
Kigambo oyo ng'ali mu Katonda,
Kigambo oyo nga ye Katonda.
(Kigambo tukusinza, Kigambo tukusinza,)
Byonna okukolebwa kyava ku ye.
Byonna okukolebwa byayita mu ye,
tewali nno kyakolebwa nga taliiwo
eyabangawo olubereberye.
Mu Ggwe obulamu mwe bwabanga mu bujjuvu,
bwabanga kitangaala ekya buli muntu, ekya buli muntu,
kyokka ekizikiza tekyakiganya,
ekizikiza, kizikiza tekyakiganya nyabula kafuuwe.
Yoanna yajja okukakasa nti ye ssi ye kitangaala,
wabula oli, wabula oli,
oli ajja Ye kye kitangaala ekya buli muntu,
ekitangaaza bulijjo mu nsi muno ddala kya mazima,
yalinga mu nsi eno, ensi eno gye yatonda
ne temumanya, ne temumanya, tuswadde ffenna,
sso nga bonna abamwaniriza, bonna, bonna
yabawa obuyinza kufuuka abaana be,
yabawa obuyinza kufuuka abaana be
abakkiriza mu linnya lye
abatazaalwa bo mu maddu g'abantu,
anti bo bazaalibwa mu Katonda.
Kigambo n'afuuka omuntu.
Weema ye n'agikuba mu ffe.
Twalaba ekitiibwa eky'Omwana we omu Kitaffe ow'ekisa gw'azaala.
Mazima nga kijjudde amazima ge ago.
Mazima nga kijjudde obutuufu bungi.
Mazima nga kijjudde obuyinza bungi.
Mazima nga kijjudde omusera enneema.
Mazima ffe twagabana ku musera gw'oyo.
Mazima atujjidde mwanguwe abatonde.
Mazima asaasidde okuzaalwa bw'atyi.
Mazima mujje mangu tumusinze Yezu.
Mujje tumusinze.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.