Lyrics
Laba, laba,
Tonda eggulu eppya n'ensi empya,
Tonda eggulu eppya n'ensi ddala empya.
Ebikadde byonna biweddewo butadda.
Ebikadde byonna tebigenda kujjukirwa emirembe gyonna,
biweddewo obutadda emirembe gyonna,
tebigenda kujjukirwa.
Yee, yee, mujaguze, mujaganye mmwe mujjule essanyu,
anti ntonda biggya, byonna, byonna biggya.
Byonna, byonna biggya,
Yeruzalemu mutonda buggya,
Yeruzalemu mutonda buggya.
Ggwe ssanyu lyange Yeruzalemu.
Ggwe kusanyuka kwange Yeruzalemu.
Abantu bo lye ssanyu lyange.
Yeruzalemu, Ggwe ssanyu lyange ery'olubeerera.
Ntonda eggulu eppya n'ensi empya.
Ntonda eggulu eppya.
Naasanyukira mu ggwe Yeruzalemu ne mu baana bo.
Okukaaba n'ennaku tebiriddayo kuwulirwa mu ggwe.
Mu ggwe temuliba mwana afa nga tannatuuka,
temuliba mwana afa nga tannaba;
temulina n'omu afa nga tannatuusa,
temuliba n'omu afa nga tannatuusa.
Mulifa bukadde.
Alifa alina ekikumi, alifa buto.
Obutatuusa kikumi ng'ekyo kikolimo ddala ddala.
Balizimba amayumba ne bagasulamu,
balisimba n'emizabibbu ne bagiryako,
balizimba n'ennyumba ne bazisulamu,
balirima n'ennimiro ne zibabalira.
Abantu bange balikula ng'emivule.
Abantu bange balikungula kye basize.
Amanyi gabwe tegalifa busa.
Abaana babwe tebagenda kuzikirira,
balibeera luse lulondomu.
Omukama abawadde omukisa.
Akaliga n'eddubu birirya wamu ssebo,
empologoma ennene erirya omuddo ng'ente ennume,
omusota gulirya ettaka, gulirya ettaka ne gukkuta.
Tewali kabi, tewali kirumya kirala,
ku lusozi lwange olutukuvu.
Ekibuga kyange ekitukuvu
kifaanana ng'omuzadde azaala nga talumiddwa.
Ani yali akirabye? Ani yali akirabye?
Ani yali akuwulidde?
Eggwanga ne lizaalibwa mu lunaku lumu?
Yeruzalemu, Yeruzalemu tajja kubonabona atyo.
Tajja nno kulinda bwatyo okufuuka eggwanga erikuze!
Temulowooza, temulowooza
nti natuusa abantu bange okubazaala ate ne sibazaala.
Tekisoboka Mukama Katonda nze mbyogedde.
Yeruzalemu, Yeruzalemu sagambiza.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.