Lyrics

Chorus

Saasira:
Ayi Mukama tusaasire, (ayi saasira)
ayi Mukama tusaasire, (ayi saasira)
Ayi Mukama tusaasire,
Ayi Mukama tusaasire. (ayi saasira)
Kristu (saasira),
Kristu (saasira),
Kristu saasira.

Chorus

Ekitiibwa:
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.
Tukuwa ekitiibwa mu ggulu Katonda
n'emirembe ku nsi eno
ku bantu be waganza bonna.

1

Tukutenda tukugulumiza tukusinza
tukussamu ekitiibwa
wakola bya kitiibwa nnyo webale.

2

Ayi Mukama gwe Katonda,
Kabaka w'omu ggulu Katonda Patri
Omuyinza wa buli kantu.

3

Ayi Mukama gw'Omwana azaalibwa omu yekka
azaalibwa omu yekka Yezu Kristu.

4

Ayi Mukama ggwe Katonda akaliga ka Katonda
gw'Omwana wa Patri.

5

Ggwe agyawo ebibi by'ensi tusaasire
ggwe agyawo ebibi by'ensi
wulira okwegayirira kwaffe.

6

Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Kitaffe tusaasire,
ffe tusaasire Mukama Katonda.

7

Kubanga ggwe Mutuukirivu wekka,
ggwe Mukama wekka
ggwe assukiridde wekka Yezu Kristu.

8

Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu
mu kitiibwa ekya Katonda Patri;
Amiina, Amiina.

Chorus

Mutuukirivu:
Mutuukirivu, Mutuukirivu,
Mutuukirivu Mukama Katonda w'amagye.
Ekitiibwa kyo, ekitiibwa kyo kijjudde
eggulu n'ensi,
kijjudde eggulu n'ensi.
Hosanna, hosanna, hosanna, hosanna Mukama waggulu eyo;
hosanna Mukama waggulu eyo.
Oyo ajja mu linnya ly'Omukama
atenderezebwenga (tumutendenga),
atenderezebwenga, ajja mu linnya lye
atenderezebwenga.

Chorus

Akaliga:
Akaliga ka Katonda
Ggwe ajjawo ebibi by'ensi
tusaasire.
(3rd time:) tuwe emirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.