Lyrics

Chorus

Mmwe abangoberera, sikyabayitanga
Mmwe baddu n’akamu - Yee
Mbayita mikwano gyange- Nze nnabalonda mmwe ne
mbaganza mbayita balangira.

1

Mwaleka ebirungi - Mwenna mwaleka ebirungi ne mujja.
Mwaleka abazadde - Mwenna mwaleka abazadde ne mujja.

2

Mwaleka amaka ago - Mwenna mwaleka amaka ago ne mujja.
Mwaleka ebibanja - Mwenna mwaleka ebibanja ne mujja.

3

Mwaleka obugagga - Mwenna mwaleka obugagga ne mujja.
Mwaleka ebitiibwa - Mwenna mwaleka ebitiibwa ne mujja.

4

Mujje mu kitiibwa - Mwenna abaaleka ebitiibwa ne mujja.
Kitange k’abaweere - Mwenna Taata k’abaweere Omutonzi.

Chorus

493. MUJJE MMWE (Fr. Vincent Bakkabulindi)

Chorus

Mujje mmwe Katonda b’awadde omukisa:
Mufune obwakabaka obwabategekerwa
Okuva ensi lwe yatondebwa.

1

Ng’ennangaazi bw’erookeralookera emyala egy’amazzi,
N’omwoyo gwange bwe gutyo bwe gukwegomba ayi Katonda.

2

Ennyonta ya Katonda omulamu, Omwoyo gwange eguluma,
Oba nno nze ndijja ddi eyo ne ndaba amaaso ga Katonda?

3

Amaziga gange nnagalyanga bumere emisana n’ekiro,
Bwe banngambanga buli kadde, nti Katonda wo, Katonda wo aliwa?

4

Mu budde obw’emisana Katonda alaga okwagala kwe okw’enjawulo,
Nnaamuyimbira ekiro ne ntenda oyo Katonda ow’obulamu bwange.

5

Nngamba olwazi lwange, nti lwaki onneerabira nze?
Lwaki nngenda nga nnakuwadde ntyo ng’omulabe annyigiriza?

6

Amagumba gambwatuka ng’abalabe bange banvuma,
Bwe bambuuliriza buli kadde, nti Katonda wo ali luuyi wa?

7

Suubira mu Katonda, bwe bulokofu bwo, tewennyika
Mwoyo gwange, tobuguutana Ggwe ndiddamu okumugulumiza.

Chorus

494. MUJJE TUTAMBULE (Fr. James Kabuye)

Chorus

Mujje tutambule ffe ab’oluganda,
Nga tuli wamu ffenna abayitiddwa,
Ddunda b’atukuzza mu Kristu Omwana we,
Tuli kimu ffenna Kitaffe y’omu,
Tuli kimu anti Omununuzi omu
Tumwatula, tumwekola, tumwebaza nnyo oyo Kristu
Omununuzi
Tumusimbeko mujje tutambule, tumusimbeko mujje
twanguwe,
Atutuuse eri Kitaffe eyo mu ggulu.

1

Leero, leero, leero, mpita eggulu n’ensi ng’abajulirwa bammwe,
Munaakoma wa okulinnya mu bibiri?
Oba muli bange mwogere, oba temuli bange musalewo,
Mulina kulonda bulamu oba lumbe, mukisa oba kikolimo,
Mulondewo obulamu bubajjule, n’abaana bammwe.

2

Leero, leero, leero, mpita eggulu n’ensi ng’abajulirwa bammwe,
Bwe munaatuusa ebiragiro nze Mukama bye mbawa,
Bwe munaayagala nze Mukama n’amakubo gange,
// Mujja kulama, mujja kulama//
Mulifuuka bangi, omukisa gwange gulibabeerako.

3

Tusazeewo, tusazeewo, tusazeewo Ddunda, ffenna tuli babo. x2
Tukumanyi Ddunda Ggwe Katonda wekka,
Tukumanyi Ddunda oli wa buyinza,
Byonna by’otugambye tunaabituusa, tunaabituusanga emirembe
gyonna.

Chorus

Bass: Tusazeewo, tusazeewo, tusazeewo Ddunda ffenna tuli babo. x2
Tukumanyi Katonda wekka.... tukumanyi buyinza,
Byonna by’otugambye tunaabituusa, tunaabituusa,
Emirembe n’emirembe, mirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.