Lyrics

1

Mujje mwenna okulaba,
Ow’ekisa omuteefu,
Mujje mwenna okusinza
Omutima ogwa Yezu.

2

Ekkomi eribugujja,
Omulyango ogw’eggulu,
Ogujjudde okwagala!
Gwe Mutima ogwa Yezu.

3

Ggwe Patri mwe yeesiimira,
Omwana ye yakujjamu,
Mu Ggwe nno Mwoyo mw’atuula
Ayi Mutima ogwa Yezu.

4

Omukwano omulungi
Ogw’emyoyo emirongoofu,
Ogusaanidde obuganzi,
Gwe Mutima ogwa Yezu.

Chorus

280. YEZU NKUSINZA (Fr. James Kabuye)

1

Yezu nkusinza nze nkwewuunyizza,
Mu Ssakramentu mw’olabikira,
Omutima gwange gukwewuunyizza
Ku lw’obwetowaze bwo mw’olabikira.

Chorus

Ayi Yezu nkusinza oli wano
Ayi Yezu nkusinza ntenda. x2

2

Yezu nkusinza nze nkwewuunyizza,
Eyekisa ddala n’otubeeramu
Buli kye ndaba ntya ne bwe kiba kitya,
Kyonna tekindaga Ggwe Yezu bw’ofaanana.

3

Yezu omulungi otwagala kufa,
Mu Ssakramentu weetowazizza
Olunaku lwonna otulindirira nnyo,
Laba oyaniriza yenna akukyalira.

4

Yezu nkutenda Ggwe eyeetowazizza,
Ebintu bye ndaba binnimba nnyo
Kye wagamba kyokka kinnyamba ne nnguma,
Katonda gwe mmanyi mw’oli n’obukulu bwo.

5

Yezu nkusinza, nze njagala kimu,
Nkulabeko ddala mu kitiibwa kyo,
Omutima gwange gukwagaza kimu,
Ndabe obuyinza bwo era n’ekitiibwa kyo

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.