Lyrics
Mukama, Mukama, wandituyambye
n'ojja, n'ojja mangu.
Abantu bayigganyizibwa,
balangibwa obwemage,
ng'ate abo bekikwatako
babaleka nga bayinayina.
Yezu jangu
onunule eggwanga lino.
Yamba Yezu,
olokole abantu baffe.
Abantu b'ensi eno muli ku ki?
Mweyisa nga bwe mulabye.
Ebintu bingi ebibuzaabuza
n'abalanzi b'obulimba basusse nnyo.
Byonna biraga nti asaanye akomewo
alokole aboonoonyi.
Abaakulinda twesunga nnyo,
ojje olyowe emyoyo.
Ebintu bingi ebitunyiga,
ne sitaani atukema nnyo.
Byonna biraga nti osaanye okomewo
otaase ensi eno esereba.
Yezu mazima tuuka,
twakulinda bwa dda.
Abantu bangi abakwetaaga,
ojje otutaase ebizibu by'ensi.
Jangu Kristu osaanye okomewo
ensi ekwetaaga.
Ab'ensi eno tugudde ddalu;
tweyisa nga bwe tulabye.
Obukumpanya bususse nnyo,
n'abaluŋŋamya bubatwaliramu;
byonna biraga nti osaanye okomewo,
otaase ensi eno eri bubi.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.