Lyrics
Mununuzi ajja nkulinda, (nkulinda butakoma.)
Mukama wange nkulinda, (kulinda n'obwesige.)
Mununuzi ajja nkulinda, (nkulinda butakoma.)
Mutonzi w'ensi Katonda ajja.
Mpuliriza jjangu.
Omwana w'omuntu mulimulaba ng'ajja mu bire.
N'ekitiibwa kingi era n'amaanyi ge mwenna mulimulaba.
Kristu Kiwamirembe jjangu tukwagala.
Kristu Kiwamirembe jjangu,
Kri jjangu tukumanye.
Omwana w'omuntu mulimulaba ng'ajja mu bire.
N'ekitiibwa kingi ng'azze alilamula byonna mulibiraba.
Kristu Kiwamirembe jjangu tukwagala.
Kristu Kiwamirembe jjangu,
Kri jjangu tununulwe.
Omwana w'omuntu talitujuza abamuweereza.
N'ebirungi bingi ng'azze aligabula ffenna n'atumatiza.
Kristu Kiwamirembe jjangu tukwagala.
Kristu Kiwamirembe jjangu,
Kri jjangu otujune.
Omwana w'omuntu tuli mussanyu ffe abamumanyi.
Twesiga ggwe Yezu ffenna tukakaza ng'ozze tulikulaba.
Kristu Kiwamirembe jjangu tukwagala.
Kristu Kiwamirembe jjangu,
Kri jjangu olamule.
Ffe abaana b'abantu tuli mu kkubo eritunyiga.
Twesiga ggwe Yezu ffenna tukakasa gy'oli nantagobebwa.
Kristu Kiwamirembe jjangu tukwagala.
Kristu Kiwamirembe jjangu,
Kri jjangu tulamulwe.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.