Lyrics
Mutendereze Omukama waggulu ddala eyo, mutendereze Omukama.
Mmwe abatonde mwenna mutendereze Omukama
waggulu ddala eyo, mutendereze Omukama.
Afuga ensi yonna mutendereze Omukama
waggulu ddala eyo, mutendereze Omukama.
Bamalayika sso mutendereze Omukama
waggulu ddala eyo, mutendereze Omukama.
Amaggye ge mwenna, enjuba eyo n'omwezi (mutendereze Katonda);
emunyenye ezaaka (mutendereze Katonda).
Obwengula bw'omu ggulu (mutendereze Katonda);
amazzi mu ggulu eyo (mutendereze Katonda).
Bitende, bitende erinnya lya Katonda,
anti yalagira bulagizi (ne bibaawo),
anti yalagira bulagizi, ne bitondebwa, ne bibaawo.
Ne bibaawo, yabiteekako etteeka eritakyuka,
n'abinyweza byonna emirembe gyonna.
Mukulu ddala, asaana kwagalwa,
mukulu nnyo emirembe gyonna, emirembe gyonna.
Mmwe abali ku nsi (mutendereze Katonda),
ebikulejje mu nnyanja eyo wansi (mutendereze Katonda),
omuliro n'omuzira byombi (mutendereze Katonda),
ggwe kalenge n'omusulo (mutendereze Katonda),
ggwe omuyaga ogw'ekitalo ogutuukiriza buli kiragiro,
mumutendereze.
Ensozi mmwe n'obusozi,
emiti egiwooma ebibala, emivule gyonna,
ensolo enfuge n'ez'ettale ezikaaba ku nsi,
ebyewalula, ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka bimutende byonna.
Bakabaka b'ensi n'amawanga,
abakungu n'abalamuzi mwenna mugulumize mmwe Katonda,
mmwe nno abavubuka, abalenzi n'abawala, abakadde kinvinvi,
abato abalungi mutende, mutende erinnya ly'Omukama erisukkiridde,
yekka y'alina erinnya erisinga gonna.
Ekitiibwa kye kikira eggulu n'ensi,
n'obuyinza bw'eggwanga lye yabutumbula.
Abatuukirivu bonna gwe batenda.
Abaana be be yeyolera bonna gwe batenda.
Tumuyimbe naffe ettendo lye ddala livuge
mu kibinja ky'abatukuvu.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.