Lyrics
Mwebaze Katonda, mwebaze Katonda,
mwebaze Katonda ebikuuno byonna by'atukoledde.
Mumukoowoole, mumukoowoole,
mumanye amawanga gonna by'atukoledde. Eh!
Mumuyimbire ne kuntongooli. Eh!
Mumuyimbire ne kunnanga. Ha!
Nnyini bulamu Omukama (mumutende mumuyimbire),
Nnyini bulamu Omukama (mumutende mumuyimbire),
endagaano ye agimanyi.
endagaano ye makula.
buli ky'akola kikulu.
Katonda w'ensi. Eh! (mumuyimbire ku nnanga.)
Eh! Ku nnanga.
Mwogere ebyamagero bye enkumu Katonda by'akoze,
mwenyumirize mu Mukama Katonda "Omutuukirivu" Namugereka.
Abeyuna gy'ali mmwe musanyuke,
mweyune Katonda Ddunda n'amaanyi ge.
Mumweyune, mumweyune bulijjo, mumweyune
(mujjukire) ebyamagero Ddunda by'akoze (mujjukire)
ebyewuunyo, ebyewuunyo Ddunda by'akoze
n'emisango gye yasala,
mmwe ezzadde lya Ibrahimu, mmwe ezzadde lya Ibrahimu omuweereza we,
mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu,
mmwe bazzukulu ba Izaake ne Yakobo mujjukirenga ebikuuno bye.
Ye Mukama Katonda waffe, ye yasalawo ensonga,
ye yasalawo ensonga ez'ensi yonna bulijjo.
(Ajjukira endagaano ye) bulijjo,
ajjukira kye yasuubiza Izaake ne Yakobo
ng'alayira n'okulayira nga yalubeerera nti:
ndibawa ensi ya Kanaani ebeerere ddala yammwe emirembe gyonna.
Baserengeta mu Misiri kitalo nnyo.
Babonabona olw'enjala kitalo nnyo.
Babakozesa okukamala kitalo nnyo.
Kyokka Omukama, kyokka Omukama n'abawa okuzaala ennyo,
n'abawa n'amaanyi okusinga abalabe babwe.
N'omukono gwe ogw'amaanyi, eyo yabaggyayo
ng'atta baggulanda, n'abonyabonya abo
n'ebikangabwa bizibu ebitatadde.
N'alyoka abaggyayo, n'alyoka abaggyayo nga bagagga
zaabu balina ne ffeeza nga bonna balamu,
nga bonna balamu bamaanyi, [beliisa nkuli?].
Bavaayo nga bayimba, bavaayo nga bazina.
Nga basanyuka nga bazina n'abatuusa bonna
mu nsi endazaanye erimiddwa amawanga agagirimu.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.