Lyrics

1

Mwoyo omutonzi yanguwa
Okyalire abakwegomba
Jjuza be ddu n'enneema yo
Emmeeme z'abatonde bo.

2

Ggwe oyitibwa musaasizi
Ggwe nsulo y'obuwanguzi,
Kitone ekitatondebwa
Ggwe muliro ggwe kwagala.

3

Ggwe otwongeza eby'amazima,
Nga Patri bwe yasuubiza,
Ggwe lunwe olw'omukomo gwe
Mugabi ng'otugabidde.

4

Tumulise n'eggezi lyo,
Otwagaze ebiragiro
Tugumye era n'amaanyi go,
Endwadde ng'ozituggyako.

5

Sitaani mutugobere,
Eddembe lituweereze
Tutwale, tukulembere,
Buli kabi tukewale.

6

Tumanye Patri ssemaka,
Ne mwana eyatulokola,
Tweyongere okukkiriza
Ne mwoyo, nnyini kwagala.

7

Katonda Patri atakoma,
Ne mwana gwe eyazuukira
Era ggwe omukubagiza
Mutendebwe lubeerera!

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.