Lyrics

Olunaku olwo bwe lulituuka,
abantu bonna baligamba:
Ddala, ddala, ddala, ddala,
Katonda ye Mulokozi wange.

(Nnaakwebaza nze, nnaakwebaza nze,)
ombedde, ombedde.
Nnaakwebaza, nnaakwebaza,
nnaakwebaza nze ayi Mukama.

Wali osunguwadde,
obusungu bwo buweddewo.
Onsanyusizza, onsanyusizza okukamala, onsanyusizza.
Onsanyusizza nnyo nze,
ddala, ddala, Katonda ye Mulokozi.

Nasanyuka, nasanyuka, nasanyuka bulala.

Omukama nja kumwesiga nga sitya kabenje,
Mukama oyo ow'olubeerera, ge maanyi gange,
Mulokozi wange, gwe nnyimba.

Ng'amazzi, ng'amazzi, ng'amazzi amalungi
bwe gasanyusa abayonta,
n'abantu ba Katonda bwe basanyuka ng'abalokodde.

Mwebaze Omukama, mwebaze Omukama,
mumutendereze, mumutendereze,
mumutendereze olw'ebikulu by'akoze.
Mubimanyisenga by'akoze ensi yonna yonna ebikuuno bye.
Muyimbe, muyimbe, muyimbe n'essanyu.
Musaakaanye, mwenna musaakaanye
mmwe abatuuze ba Sioni nnyumba ye.

Kubanga Omukama ali mu mmwe,
kubanga Omukama ali mu ggwe.
Kubanga Omukama ali mu mmwe, ali mu mmwe,
ali mu ggwe Omutuukirivu wa Israeli.

Mwebaze Omukama, mwebaze Omukama,
mumutendereze olw'ebikulu by'akoze.
Musaakaanye mmwe abatuuze ba Sioni,
mwebaze Katonda mwenna.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.