Lyrics
Nnaatenderezanga, nnaatenderezanga,
nnaatenderezanga Omukama obudde bwonna;
ettendo lye mu kamwa kange bulijjo.
Omwoyo gwange gugulumiza Omukama,
abeetowaze bawulire basanyuke!
Nga bukedde ku nkya, (nnaatenderezanga)
emisana mu ttuntu, (nnaatenderezanga)
ng'enjuba egoloobye, (nnaatenderezanga)
n'ekiro eyo mu ttumbi, (nnaatenderezanga)
mu buyinike obungi, (nnaatenderezanga)
ne mu kujaguza okungi, (nnaatenderezanga!)
Nnaatenderezanga Omukama mu nnyimba,
nnaatendezanga Omukama ku ntongooli.
Ku nnanga, ku ntongooli,
nnaatendereza erinnya lye, obudde bwonna.
Mujje tuyimbire Omukama, tumutendereze Ddunda,
Oyo Omutonzi waffe. Agulumizibwenga.
Mujje tuyimbire Omukama, tumutendereze Ddunda,
Ye muyambi waffe; Agulumizibwenga.
Bwe nnamukoowoola oyo, Atenderezebwenga.
Yampulira n'anziramu, Agulumizibwenga.
Byonna bye nnali ntya nze, atenderezebwenga.
Byonna yabimponya ebyo, Agulumizibwenga.
Yamponya obulwadde, Atenderezebwenga,
n'amponya amagombe, agulumizibwenga.
Yamponya ebikyamu; Atenderezebwenga;
n'abalabe abannumba, Agulumizibwenga.
Mutunuulire gy'ali, mulyoke musanyuke mmwe.
Mutunuulire gy'ali mulyoke musanyuke mmwe,
amaaso gammwe ago galeme kuswala,
galeme kuswala, galeme kuswala.
Omunaku yalaajana mu buyinike obungi,
Omukama n'amuwulira; n'awuliriza omulanga gwe,
n'amuwonya byonna ebyamuli obubi.
Malayika w'Omukama yakuba ensiisira ye,
okwetooloola abamutya bonna.
N'abawonya bonna, n'abawonya bonna, bonna.
Mulegeeko, mulegeeko;
mulegeeko mulabe Omukama bw'ali omulungi, bw'ali omulungi.
Omuntu amweyuna yeesiimye, yeesiimye.
Yee, yee, nnaatenderezanga.
Yee, yee, nnaateenderezanga.
Nnaatenderezanga, nnaatenderezanga,
nnaatendereza Omukama, emirembe n'emirembe egy'olubeerera.
Amiina! Amiina! Amiina!
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.