Lyrics
Nze mugaati gw'obulamu. (Mundyeeko. Nze mugaati ogw'obulamu.)
Alya enyama yange, n'anywa n'omusaayi,
ye aliba mulamu.
Ky'ekyo beetegese mujje tulye entanda,
ffe nno tube balamu.
Jangu eno ggwe gy'akuyise n'omutima ng'ogutukuzza;
ogabanenga ku kijjulo, mweyune ggwe akulokolenga.
Jangu eno ggwe n'osembera ku Altari ey'abaana be;
omubunye ne mu balala, Ye Kitaffe agabula bonna.
Jangu n'olya by'ategese n'omutima ogwenenyezza;
omubunye ne mu bwengula, ggwe musenge Ye Kabaka waffe.
Ajja gyendi aliba mulamu, n'enjala ye eriwonerawo.
Oyo anzikiriza mu byonna, eyo ennyonta ng'agiwonye yonna.
Alya n'anywa buliba bubwe obulamu obw'oluberera.
Ajaganyenga bulijjo, eyo ennyonta ng'agiwonye yonna.
Sajja kukola kye njagala wabula eky'oyo eyantuma;
sirina kubuuza be yankwasa naye mbazuukize ku lw'oluvanyuma.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.