Lyrics
Nze ngenda ntya eri omukama,
Ddala ddala ngenda ntya
nga sirina kye mmutonedde,
Kamutonere nze bye nnina
Ayi mukama bikkirize.
Ayi mukama ndi mwanawo, kyokka ayi mukama nkujeemera,
Ne nkusaba kati onziriremu nze ayi mukama aboneredde.
Omugaati gwo gwe ndeese ng'era n'eviini ngitaddeko,
Bikutambirwe olwaleero mu Yezu Kristu omwanawo.
Katukwebaze ggwe by'otuwa, ffenna abaganzibo abakumanyi,
Byonna ayi mukama biva wuwo, era ayi mukama bidda wuwo.
Ebyo ebibala bye tulina, ssaako ebisuubulwa bye tugula,
Byonna ayi mukama biva wuwo, kuba ayi mukama ggwe katonda.
Watutonda n'otuteekawo, n'ebyo ayi mukama bye tulina,
Era ayi mukama tukimanyi, byonna ggwe by'ofuna obizzaawo.
Katukwebaze bye tulina, byonn ayi mukama n'obulamu,
Bye tutalina tubisabye, byonna bitufuule ffe abaana bo.
Ekirabo ekisembayo, ye ggwe ayi mukama abaana bo,
Emitima kagibe gigyo, ffenna nga twagala by'oteesa.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.