Lyrics
Oggya ku bugagga bwo Mukama wange Ggwe n’ongaggawaza.
Ebyo bye mpita ebyange byonna bibyo,
Njigiriza nange okutoola ku ebyo by’ompadde mbikuddizenga.
Njigiriza nange okutoola ku ebyo by’ompadde ngaggawaze
abalala.
Ebirabo bye ndesse biibino nga biva mu kutegana kwange,
Omutima gwange ne bye nnina gy'oli biba bya ttendo.
Ebyennaku n’ebyessanyu Taata mbikuddiza byonna,
Obunafu bwange n’ebinnema bye birabo bye ndeese.
Obulamu bw’ompadde Mukama obujjudde emikisa,
Kitange nneeyanzizza ebirungi ontonedde bingi.
Mu kutuusa bye nteekwa okukola mbeere kitangaala,
Mu kusiriira ne nzigwerera mbayambe balabe ekkubo lyo.
Amaanyi n’amagezi bye wampa okuva mu buto bwange.
Okubyeyamba ne ntetenkanya ebibala nga nfunye bingi.
Bwe bugagga kwe ntodde Mukama ne nkuddiza nnyini byo,
Obitwale Ggwe Nnamugereka bye birabo bye ntodde.
Abayonta n’abawamma Mukama abatalina kantu,
Bangi abanneetoolodde Ddunda abadaagira Ggwe,
Ka ntoole ku by’ompadde ebingi mu kutegana kwange,
Bafune emmere ya leero ettendo lyo bayimbe.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.