Lyrics
Omutuufu alyanya, alyanya ng'olukindu,
omutuufu alyanya, alyagaagala nnyo,
alifaanana sedro ez'oku Tibano eyo,
omutuufu alyanya, alyagaagala nnyo,
eyasimbibwa mu nnyumba ya Katonda,
eyanyizza yonna mu nnyumba ya Katonda,
ne mu bukadde bwabwe baliba bakyabala,
balamu bulijjo, bonna batiba butibi,
mu mawanga gonna balange Omukama ono
nti Ye Ggwe lwazi lwange
y'ankuuma talina bukuusa, mutuukirivu.
Ayi Mukama nga kirungi okukwebaza,
okuyimba n'okutenda ggwe Mukama waffe atenkanika,
kirungi okwatula ekisa kyo.
Kirungi nnyo okwatula obwesigwa bwo bw'olina,
emisana n'ekiro nga tusuna endongo,
nga tukuba ennanga n'oluyimba olw'egwoowo.
Byonna by'okola Mukama wange nze binsanyusa.
Watuukiriza, (Ggwe bye watugamba) bituufu nnyo, (nze binsanyusa)
byekusifu bikulu nnyo, (by'okola bisuffu, nze binsanyusa)
by'olowooza byonna (byekusifu nnyo okukamala)
bituufu byonna, (nze nsanyusa)
bwe mbirowooza nze binsanyusa.
Eyasiriwala bino tabimanyi.
Omusiru yenna tabitegeera.
Ababi ne bwe bameruka ng'omuddo,
ne bye bakola byonna ne bibagendera bulungi,
ku nkomerero ya byonna,
bazikirira ne basaanawo;
kyokka ggwe Mukama osigalawo.
Osigalawo emirembe gyonna.
Osigalawo, osigalawo emirembe gyonna.
Ddala ky'amazima, ddala ky'amazima,
bawanguddwa abalabe bo nnyini,
bawanguddwa, baakusaanawo emirembe gyonna.
Naye nze, ompadde amaanyi,
ompadde amaanyi ag'embogo ddala enkambwe,
onsiize n'omuzigo ne nnyirira okukamala.
Mukama Ye Kabaka, alina ekitiibwa Mukama Katonda waffe.
Alina ekitiibwa, amaanyi n'obuyinza,
ensi yonna, yonna yaginyweza byaggwa,
teriyugayuga; yaginyweza nakamala.
Entebe yo Ssebo nywevu bulala nnyo.
Okuva ddi na ddi, okuva emirembe n'emirembe,
ddala ggwe w'oli, oli wa mirembe
Mukama ali mu ggulu, oli wa buyinza,
kira amayendo n'okuwuuma kw'ennyanja.
Bye walagira, tebikyukakyuka,
obutukuvu bwo ddala busaanira,
busaana ennyumba yo,
emirembe gyonna, gyonna, gyonna, gyonna.
Ddala kirungi okugulumiza Omukama,
ddala kirungi tumutende ffenna.
(mu luyimba ffenna / Omutonzi waffe)
Okuyimba erinnya lye,
ku ndongo ayi ali waggulu ddala,
tumutende ffenna,
okugulumiza ku makya ekisa ky'alina,
n'ekiro okulangirira obwesige,
mpa endongo, mpa endongo ey'enkoba ekkumi eyogere,
n'entongooli luyimba ku nnanga lugoberere.
Kyetinze, kyetinze,
kyetinze emizira musseeko, (kyetinze, kyetinze)
kyetinze, kyetinze kabivuge, kabivuge.
Gusinze, (Eh! gusinze, eh!) gusinze,
gusinze, gusinze, gusinze,
anti onsanyusa nnyo mu by'okola Mukama wange,
ne nzijula nzenna olw'emikono gyo
bye gikola essanyu ezzibu.
Emirimo gyo gya ttendo Mukama wange,
ebirowoozo [byonga?] bituuka, nga bituuka
wala ddala, wala ddala, wala ddala, ddala nnyo.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.