Lyrics

1

Omwana w’Omutonzi, alese eggulu lye;
Mulabe Omulokozi, azaaliddwa ku nsi.
Ffe abali mu nnaku, Yezu atusaasidde;
Azze okutuggya mu buddu, n’effugabbi lya sitaani.
Amutuwangulidde, amutuwangulidde.

2

Abantu, mutegeere Yezu bw’atwagala
Ffenna ka tumweyanze okutulokola
Ebyonziira eby’edda leero tibikyagasa:
Tufunye ekirala ekiggya, Yezu yekka atasingika;
Ye wuuyo atununula, Ye wuuyo atununula.

3

Ekitwesiimya ku nsi leero, nze nkigaya;
Anti ndaba Omutonzi bwe yeefudde Omwana.
Ggwe wamma kya ssanyu! Abantu tuweereddwa!
Yezu bw’avudde mu ggulu, atuwonyezza obunaku.
Tumusseemu ekitiibwa, Tumusseemu ekitiibwa.

4

Twala nno omwoyo gwange, Yezu Ggwe Kabaka,
Ne mu bulamu bwange onfugire ddala.
Nkulagaanya kino: Okubeera omuddu wo
N’okukwagalira ddala mu mazima nga sirimba;
Ggwe Omulokozi wange, Ggwe Omulokozi wange.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.