Lyrics
Tugende tumufune, Tulina essanyu ffena okugabana
Tugende tumufune, ku Ukarastia eno ey'obulamu
Tugenda ku mbaga ebyambaro tubilina
Tugenda ku mbaga n'ebyambaro byaffe eby'obugole.
Tugende tumufune omukama nnyini bulamu
Mu Ukarastia Kristu mw'abeera.
Tugenda ku mbaga Omukama gy'atuyise
N'abajulizi era gye bagabanako.
Abankuseere n'abaavu bayitidwa
Ku Ukarastia embaga yaffe ey'obulamu.
Bamuzibe abo n'abalema olwa leero
Bajje balye ku kijulo eky'obulamu
Ukarastia ngabo yaffe ey'obulamu
Erituwanguza olutalo ffe abalamazi
N'abajulizi gye baafuna mu kulwana
N'ebawanguza obulamu obw'olubeerera.
Mukama waffe nga essaawa emuweddeko
Yatuula wamu ku meeza n'Abatume be
N'abagabula embaga ye eyasembayo
Ye Ukarastia eno gye twettanira.
Abajulizi abattibwa e Namugongo
Tubalabireko baganda baffe abazira
Ukarastia gye beesiga mu kulwana
Yabattikiza engule ey'olubeerera.
Timutyanga abo abazigu bali - abayigganya
Timutya abo abazigu bali - ababawalana
Oluusi bajja ne balowoza - ni babamalawo
Sso muli bangi olw'amaanyi - Katonda g'abawa
Nze nnabasuubiza ndibawa era - bye muliddamu
Bwe baba babatutte mu kkomera eyo - tuliba wamu x2
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.