Lyrics
Yee, yee, (Ky'ekyo, ky'ekyo)
tugulumize Katonda olw'ebirungi enfaafa
by'atuwadde mubufumbo (mubulamu) bwaffe.
Mu bizibu byaffe twabanga wamu,
mu ssanyu lyaffe twabanga wamu n'Oyo Katonda waffe;
ng'atulambika era ng'atugumya ne tubiwangula.
Tumwekola nnyo, tumwebaza nnyo,
ffenna tusaakaanye nti agulumizibwe.
Watukuuma ng'omuzadde akuuma omwana we,
watukuuma ng'omuzadde akuuma eriisolye.
Watuyiwako emikisa gyo Taata otwagala nnyo.
Obufumbo (Obulamu) bwaffe ne bunyweerera ku ggwe,
ne tutuuka n'ekijaguzo ekya feeza.
Tukwebaza nnyo omukwano gwo Ddunda webale.
Tukwebaaza nnyo ebirabo by'abaana by'otuwadde.
Tweesiimye, tukwebaza obulamu Ddunda bw'otuwadde ffe.
Tukwebaza nnyo omukwano gwo Ddunda webale.
Tukwebaaza nnyo obuyambi n'amaanyi g'otuwadde.
Tweyanze, tukwesiga ffe abanaku Ddunda otwongera amaanyi.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.