Tulibuyingira Obwakabaka Bwe

Composer:

Lyrics

1

Tulibuyingira obwakabaka bwe, tulibeera eyo mu bwakabaka bwe
Ffe ababatize abalondemu abaana b’enngoma ab’obwebange
Tuli baana mu bwakabaka bwe, ffe be yatukuza abeebonanye
Mu Batismu tuzaalwa buto, tuli baana ba Katonda oli
Tuli baana ba Katonda oli, eggwanga lye ddala ery’obwebange
Tulibeera eyo mu bwakabaka bwe, bwe yategeka olw’abalondemu.

2

Tuteekwa buteekwa --- kya mazima: Okuzaalibwa mu mazzi ne mu
Mwoyo
Tuteekwa buteekwa --- kya mazima: Okuzaalibwa okuzaalibwa
ogwokubiri.

3

Mu mazzi ne mu mwoyo - Yee - bwe yalagira atyo - Tuteekwa buteekwa
Okuzaalibwa ogwokubiri, tulyoke tuyingire mu bwakabaka bw’ategese.

4

Ekizaalibwa omubiri - ekizaalibwa omubiri - guba mubiri - guba mubiri
wamma
Naye ekizaalibwa omwoyo - guba mwoyo mazima - guba mwoyo, guba
mwoyo - guba mwoyo.

5

Mwoyo oli y’atuzaala, tuzaalibwa mu Mwoyo wa Katonda
Mwoyo oli y’atuzaala, Mwoyo ye, ye gwe twanywako
Ago leero gatutukuza amazzi ga Batismu gatuzza buto
Ago leero gatutukuza ne tunaazibwa ebibi ne biggwaawo.

6

Ffe ababatize - tusaana tufube - okutuuka - mu bwakabaka bwe
Kati tweraba - nga tuli baggya - mu kitiibwa - eky’olubeerera
Ffe ababatize - ffe tulituukayo - mu kitiibwa - eky’olubeerera
Eyo Mukama - Katonda - eyo gy’Ali - tulituukayo, tulituukayo
Ffe ababatize - tulituukayo mu bwakabaka bwe.

Chorus

398. WANNONDA DDUNDA (Fr. James Kabuye)

Chorus

Wannonda Ddunda Ddunda
Wannonda Ddunda Ddunda
N’osiima mbeere wuwo N’osiima mbeere wuwo
Wanfuula mwana, nga mbatizibwa Nga mbatizibwa
Wansiiga omuzigo,
N’onkakasa mu butume bwo N’onkakasa mu butume bwo
Nnafuuka kiggwa mw’osiiba Mw’osiiba
Mw’otuula, Ggwe Katonda Ggwe Katonda
Ha! Nneesiimye, Nneesiimye
Ha! Ng’onjagala. x2 Ng’onjagala. x2

1

Mujje mulabe Omukama by’akola, bya magero,
Bisamaaliriza by’akolera abantu.
Tukwekola, Ggw’atubumba,
Tukwekola, Ggw’atutaasa,
Tukwekola, Ggwe Ddunda Lugaba.

2

Mujje mulabe Omukama by’akola, bya magero,
Bisamaaliriza waddiramu abantu.
Tukwebaza, Ggw’atulokola,
Tukwebaza, Ggw’omusaasizi,
Tukwebaza, Ggw’alunda ffenna.

3

Mujje mulabe Omukama by’akola, bya magero,
Bisamaaliriza wangobako obutamanya
Ssirimbibwa buli ekijja,
Ssirimbibwa mangu nnyo,
Ssirimbibwa nze Kristu gwe mmanyi.

4

Mujje mulabe Omukama by’akola, bya magero,
Kristu Katonda, Ggwe mmere y’abantu!
Tukwebaza Ggw’atuliisa,
Tukwebaza Ggw’entanda,
Tukwebaza Ggw’atwewa wenna.

5

Mujje mulabe Omukama by’akola, bya magero,
Bisamaaliriza by’akolera abantu.
Tuba naye buli wantu,
Tuba naye mu nngendo
Tuba naye ewaffe mu maka.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections