Lyrics

Chorus

Tusazeewo, tusazeewo, (tusazeewo)
okuwereza Omukama Katonda waffe.
By'atugamba bye tukola,
by'ayigiriza ffe bye tukkiriza.
Tujja kubituusa, tujja kubituusa
n'omutima gwaffe gwonna.

1

BannaUganda mujjukire,
emirembe gya sitaani kalimbira omukambwe.
Kitaffe olw'ekisa kye
n'atuwa ekitangaala mu Mwana we;

2

BannaUganda mujjukire,
okuva ku lwa Batismu, ffe twawona emisango.
Kitaffe olw'ekisa kye
twaddamu okuba ffenna abaana be;
kw'olwo ebya sitani twabimala.
Twasenga Kristu Omwana wa Katonda.

3

BannaUganda mujjukire,
okuva ku lwa Batismu, Kitaffe y'atuzaala.
Kitaffe y'atuganza,
tuli ggwanga lye ffenna mu Mwana we;

4

BannaUganda mujjukire,
okuva ku lwa Batismu, Mwoyo ffe y'atutwala.
Yatujjuza ebirungi,
n'ebitone bye byonna ye nnyini byo;

Chorus

Coda:
a. Ebikyamu tobireeta,
kubanga tuli bantu ba Mukama.
b. Obulimba twabukyawa,
kubanga tuli bantu ba Mukama.
c. Ensobi ezo twazikyawa,
kubanga tuli bantu ba Mukama.
d. Ebibi ebyo twabikyawa,
kubanga tuli bantu ba Mukama.
e. Kikafuuwe okudda mw'ebyo,
kubanga tuli bantu ba Mukama.
f. Tumujulire Kristu mu lwatu,
mu bigambo ne mu bikolwa (bulijjo).

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.