Twebaze Ffe Tutende

Composer:

Lyrics

Chorus

Twebaze ffe tutende Mwoyo Mutuukirivu
omulambisi ye lunye k'abeere
anaabugumya ffenna obulamu bwo
abwefugenga bulambike nno lubeerera.
Tomusuula ggwe omnutonde we
ggwe nno olirama.

1

Negomba nnyo nze mbeere omu ku basiimwa Mwoyo oli.
Ebitone bye mu nze ayole, seetaanga nze ambuzabuza.

2

Neetaaga nnyo Mwoyo oli ampe ku biyamba okulungiwa;
Nze mu maaso g'Omukama nganje anti Ye oyo ambudaabuda.

3

Neesunga nnyo nze bulijjo, nze mbe ku bayamba okulambika;
Abo abantu ba Mukama bonna Ye Mwoyo ng'abalambika.

4

Mwoyo wa Kitaffe y'omu eyamulisa ab'edda bamanye
Ebikuuno ebingi mu kukkiriza. Ye mu Muyinza nabasatwe.

5

Neesamba nnyo bino eby'ensi ebinankyaamya nze okuwaba.
Mwoyo ow'amagezi yekka Ye ng'ammulisa olubeerera.

6

Sacramentu lino ly'ampa mu Konfirmasio, annyweza;
Mu mukwano gwe Mukama nsigale awo gugume be gguluggulu.

7

Nsinza nnyo obusatu ssimala, Ye Katonda alamula atawubwa;
Nga ne Mwana we eyatuwa Mwoyo sseetya gy'ali ndituukayo.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.