Lyrics
Ukaristia, Ukaristia (entukuvu),
Ukaristia kye kitangaala eky'ekyasa ekiggya.
Ky'ekitambiro kye kitambiro eky'omulembe gwaffe.
Kristu lamula, Kristu wanngama,
mu Ukaristia mw'obeera.
Nze ndi wamu nammwe emirembe gyonna,
musigalenga mu mukwano gwange.
Nga Kitange bwanjagala, nange bwe mbagala
musigalenga mu mukwano gwange,
tulijja n'okujja ne tubabeeramu.
Nze muzabibu mmwe matabi, Kitange ye mulimi.
Anywera mu nze oyo y'abala ebibala ebingi era aba mulamu.
(Kristu abalinze) mujje mufune obulamu bubajjule ddala.
Nga Kitange ye bwe y'antuma nange bwe mbatumye
nange ndi wamu nammwe okutuuka ensi eno lwe liggwawo.
Ekitambiro ekitukuvu kiwerezebwenga ennaku zonna.
Omulimo gw'obutume gwatikirire gutinte nnyo wonna wonna mu nsi.
Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections
Sheet music
Open full screenIf the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.
Listen to this song
This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.
Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.