Lyrics

Chorus

Saasira:
Ayi Mukama Ggwe musaasizi,
ayi Mukama Ggwe musaasizi.
Kristu omusaasizi,
Kristu omusaasizi.

Chorus

Ekitiibwa:
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.
Ekitiibwa kibe eri Kitaffe Katonda,
ne mu nsi eno emirembe.

1

Tukusinza, tukutenda, tukugulumiza,
wakola bya kitiibwa nnyo weebale.

2

Yezu Kristu Omwana wa Katonda,
Akaliga ka Katonda Kristu Omwana wa Kitaffe.

3

Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire,
tusaasire wulira okwegayirira kwaffe.

4

Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Kitaffe,
tusaasire Mukama Katonda.

5

Kuba Ggwe mutuukirivu wekka,
Ggwe Mukama wekka Yezu Kristu gwe osukkulumye.

Chorus

Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu,
mu kitiibwa ekya Katonda Patri. Amiina.

Chorus

Alleluia:
Alleluia, alleluia, alleluia, alleluia.

1

Mutendereze Omukama, wano mu nnyumba ye.
Mumutendereze olw'obulungi bwe.

2

Mutendereze Omukama, olw'ekitiibwa kye.
Mumutendereze olw'obulungi bwe.

3

Mutendereze Omukama, mmwe abatonde be.
Mumutendereze Omutonzi wa byonna.

Chorus

Mutuukirivu:
Mutuukirivu Mukama Katonda w'amaggye.
Mutuukirivu, Mutuukirivu oyo Katonda w'amaggye.
Mu ggulu ne mu nsi wajjudde ekitiibwa kyo,
wonna, wonna, wonna otenderezebwenga Katonda w'amaggye.
Hosanna, hosanna.
Hosanna, hosanna.
Hosanna, hosanna Mukama.
Oyo ajja mu linnya ly'Omukama atenderezebwe.

Chorus

Akaliga:
Akaliga, Akaliga, Akaliga ka Katonda, tusaasire.
Ggwe aggyawo ebibi by'ensi tusaasire,
otuwe emirembe, otuwe emirembe, otuwe emirembe.
Akaliga, Akaliga, Akaliga ka Katonda, tuwe emirembe.

Spotted a wrong word or a missing verse? Make corrections

If the score does not display on your phone, use View sheet music to open it in your PDF reader.

Listen to this song

This song cannot be played here yet: the sheet music is a picture of the score, and a playable copy has to be prepared and checked by a musician. Ask for it and we will prepare the most requested songs first.

Composers and typesetters: if you have this song in MuseScore, Sibelius, Finale or capella, send us the notation file and it can be playable within days.